Buganda Heritage

Home
About Us
Culture
Constitution
Management committee
Members
Appeal
Teaching Programme
Joining

 

 

About

BANNAFFE ABAGANDA E BUNGEREZA MU IRELAND N'AWALALA MUNSI ENDELA ZONNA GYEMULI, N'EMIKWANO GYA BUGANDA MWENNA-

AKAKIIKO KA BUGANDA HERITAGE ASSOCIATION (UK & IRE) KABATUUSAAKO OBUBAKA BUNO:

GUNO MULANGA.
ERA GUKWAATA KU BYA BYAKULABIRIRA NAKUKUUMA EBYOBUWANGWA BAFFE ERA N'OBWAKABAKA BWAFFE.
OMWAKA GUNO TUKOZEYO ENJU Y'OMUZAANA E KASUBI EMU.
NETWEETEMA OKULIISA ABAZAANA KU WEEKEND OMWAAKA GUMU. TWAAGALA OKUSSA AMAZZI E KASUBI.

Era n'ebirala bingi ebyetagisa okukola.
Tukusaba otwegatteko yonna gyooli. Otuyambe okunnonya kunsimbi era nokuleeta ku birowoozo ku by'okukola era n'engeri gyebinakolebwaamu.
Ku bwa kabaka tulowooza ku Lubiri MMENGO
N'amasiro GA BASSEKABAKA e Kasubi namalala nga bwe tugalaze awalala. Era waliwo n'ebifo ebirala ebikulu ebikwata ku by'obuwangwa, n'ebyafaayo byaffe; awamu n'okukuuma eby'obulombolombo bwaffe.

Okwo nga kw'otadde n'okukuuma n'okukuza olulimi Oluganda.

Ebyaffe ebimu byatuddizibwa naye nga bifaafaganye era kati kiri eri buli Muganda okubizzaawo.

Ekirala kiri nti tulina okukuuma ebyafaayo n'obulombolombo bya Buganda n'empisa zaffe ez'obuwangwa.

BWETUTYO TUKUKUBIRA OMULANGA OTWEGATTEKO.

Okufuuka Member omujjuvu wetaaga okuwaayo £20 okusooka. Ate olwo buli mwaka owe ekyenkana £1 buli week (ze £5 omwezi).

Tewali kigaana muntu kuwa kisingako awo bw'aba asobola. Ffenna olutalo luno bwe tulwenyigiramu situjja kulemwa. Anti:
' Agali Awamu.…..'
Bwetussaayo ogwa Naggamba tuswala, kubanga:
'Nnyini kiggwa; y'akiweebuula'.

Okumanya ebisingako awo tuukirira bano: Omulangira Daudi Golooba, Ssentebe 020 8933 7811, Saava Iga-Matovu, Omumyuka 020 8854 3554, Chris Luswata, Omuwanika 020 8658 0823, Omwami Edward Lubega, Omuwandiisi, 020 8905 3465.

Cheque oba standing order gisse mu mannya ga Buganda Heritage Association (UK & IRE).

Era giwereze: Buganda Heritage (UK & IRE), 17 Abingdon Court, Lacey Drive, Edgware, HA8 8AP. UK

Ebifanyi bino wansi bikulaga emu ku nju z'abazaana be Kasubi buli Muganda yenna waali n'ebwaaba nga talina n'ekuba nnyonnyi, yaliwulidde ensonyi okulaba nti Abzaana ba Bassekabaka baffe basula mu kisibo. Bw'oba nga naawe ekyo ky'owulira, weeteme.

 



 



 
Copyright 2002 Home Email us